OKULUNGAMYA OKWENAKKU ASATU ERI OMUKIRIZA EYAKALOKOKA:
ENYANJULA:
Okuzalibwa kw’omuntu mu by’omwoyo, kye’kimu ku bumanyirivu obusukulumye okunnyonyolwa. Omutume Pawulo oba olyawo, asembera kumpi bw’akiyita nti, omukiriza afuuka kitonde kiggya “Omuntu yenna bw’aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: ebyedda nga biweddewo; laba nga bifuuse biggya” (2 Abakkoliso 5:17).
Era nga mu kuzaalibwa okw’abulijjo, ekiseera ekiddako amangu ddala embeera eno empya gy’etuba tuyingiddemu. Okukyuuka okudda eri obulamu mu Kristo kitwala ekiseera, obugumikiriza, wamu no’kulabilirwa okw’enjawulo.
Okusobola okukuyamba okufuna entandikwa ennungi ekiddakko ye’ngeri eyamaanyi, ey’eebyo ebyokuyiga eby’omuddiringanwa, nga biri mu bufunze ebiiyitibwa ebiddako: Engeri y’okulungamizibwa ya nnaku asatu ez’oku kula mu mwoyo. Endagiriro eno ejja ku kuyamba okusobola okutandika ku lugendo lwo nga olinya wagumu. Kitekedwateekedwa kukozesebwa buli lunnaku mu nakku zonna eziddako amakumi asatu.
Nange ngamba nti kale singa emitendera gino gyaliwo mu kiseera we nakiririza Kristo emyaka amakumi anna egiyise! Manyi nti gyandyanguyizaako okukula kwange okw’omwoyo, ate era nekunyamba okwewala ensobi ez’obusiru z’enakola ngasimanyi.
Omukyala wange, Wendi, ngatuli wamu tukuzizza abaana mukaaga, era nabo batuwadde omukisa gwa’bazukulu kumi na’musanvu. Nange bw’entyo nfunye obuwanguzi mu mirimu gyange egy’ebyenfuna. Naye tewabaddewo kimpadde ssanyu ng’okutambula wamu ne Yesu, olugendo olw’obuvumu okutuuka na leero. Leka naawe ofune era ozuule essanyu eryo. Lwaki kati totandika omutendera oguddako ogw’olugendo olulwo kakaano? Luno lwe lunaku olusooka, olw’okukyusibwa kwo lukulindiridde!!
Byawandikibwa Yokaana. D. Beketti.