OLUNAKKU OLUSOOKA: OKUKYUSIBWA OKW’OBUNTU:
Kiki ddala ekibeerawo bwe mperayo ddala obulamu bwange okumalirira okugobelera Yesu? Mu kukola okusalawo kuno okukulu:
Okkiriza ekibikyo okuba nti kibadde kikwawudde bulijjo okuva eri Katonda.
Wenenya, n’okukyukira Katonda wo era n’okuva eri amakubo go ag’edda ge’watambulirangamu.
Ofuna era oweebwa Yesu Kristo okubeera omulokozi era mukama w’obulamu bwo.
Eno y’engeri Baibuli gy’enyonyolamu okukyusibwa kuno: okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala; okuva mu busibe, okudda mu ddembe; okuva mu kufa, okudda mu bulamu. Ky’ewunyisa! Amangu ddala nga wewereddeyo ddala okugobelera Yesu oyinza okulowooza nti eggulu erikutte ebbire liyinza okuvaawo, oba nti omusana gujja kwanjaala mu mitawana gyonna egy’obulamu bwo, nti era bisaanuke nga omukka. Naye nze kino sikyenayitamu. Sawulirako wadde enjawulo okuva ku byabulijjo na ddala ku lunaku olwasooka. Amangu ddala, wewaawo, nga bw’enakiriza Kristo okulungamya obulamu bwange mu birowoozo n’okusalawo, na’kivumbula nti nfunye eddembe erijjuvu, obuvumu wamu n’essanyu ery’omunda.
Katugambe nti oguze emotoka empya naye n’ekikwewunyisa nti osanze Baature teriimu. Ddala kirungi ojja kuba nga wenyumiriza mu ky’omuwendo kyo ky’olina era ng’osobola okugibukira naye nga eky’okugivuga olowoozako kirowooze. Naye ate nga toyina Baature, emotoka yo empya era ennungi ejja kusigala awo. N’obulamu bw’affe nga tebulina Kristo bw’ebutyo bwe buli. Naye ate nga tuli naye nga atuwa amaanyi (Batuure okuva omuliro) tuba tusobola okuba ekyo ky’eyatutekerateekera okubeera.
Ddamu amaanyi, newankubadde nga tonalaba nkyukakyuka y’amaangu. Kristo ngali mugwe, enkyukakyuka egy’akugobelera. Kati oli muntu muggya. Otandise olugendo olupya.
Olunyiriri olukulungamya: “Omuntu yenna bw’aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya; eby’edda nga biweddewo; laba, nga bifuse biggya.” (2 Abakkolinso: 5:17)