OLUNNAKU OLW’OKUBIRI: OKUTANDIKA OLUGENDO:

 

Kiki ky’enandisuubidde mu lugendo lwange?

 

“Taata, olwo kati tutuusewo?” ekyo ky’ekibuuzo abaana abato ky’ebabuuzanga bw’ebaali bakyali, buli lwetwabanga tufulumye okugenda mu lugendo lwonna oluwanvu mu motoka. Nabajukizanga obunji bw’esaawa ezatuli nga mu maaso, ate era n’okuberanga abagumiikiriza ate n’okunyumirwa olugendo. Olugendo lwo olw’okukiriza, lusingako ku lugendo olw’okuvugibwa mu motoka. Ng’eri yakuvumbula mu okuyita mu bulamu buno bwonna.

 

Okukuyamba ng’oluyitamu:

 

Beera mukakkafu nti, kibe kiki kyonna ky’osisinkana, Kristo ali wamu naawe. Ekyo yakisuubiza, “Sirikuleka n’akatono, so sirikwabulira n’akatono.” (Abebbulaniya 13:5)

 

Tuunulira ebintu ebitono ebikyuuka, si ebyo ebigwaawo amangu. Okugeza: Okusisinkana omukwano omulala eyakiriza Kristo, okweyongerayo nga ogenda owangula omuze ogw’okunyiiga, okuvumbula olunyiriri olufuuka “olulamu” ku lulwo.

 

Yaniriza buli kaseera, nga wesiga Mukama ku lwo bulamu bwo obw’omumaaso.

 

Enkyukakuka si nnyangu. Twetaaga okuba abavumu ku lwaffe, okusingira ddala, bwe tubeera tukemebwa okubivaako. Naye buli lwe’tufuna obuwanguzi, n’ebwebuba butono butya, tuba tusobodde era wakiri okusisinkana okusoomozebwa okuddako. Emirundi mingi n’alowoozanga nti obulamu bw’omulokole buba buzibu nnyo.

 

Emizze egy’edda wamu n’emikwano abaali balina enkola ezitali nnungi baali nga bansika okuddayo nga ninga ebyuuma bw’ebisikibwa magineti. Emirundi egimu n’alemererwanga ne ntwalibwa oba n’empangulwa. Naawe ebiseera bino bw’ebiti ogenda kubisisinkana. Naye Mukama waffe ye’bazibwe, nti tetuli ku lwaffe: tusobola okwesiga Mukama waffe Yesu Kristo oyo abeera mu ffe, era nga mumalirivu okulaba nga atuyisa mu lugendo luno okutuuka ku nkomelero yalwo.

 

Olunyiriri olwo’kujukira: “Nga ntegedde ddala kino ng’oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuuka ku lunaku lwa Yesu Kristo.” (Abafiripi 1:6)