OLUNAKU OLW’OKUSATU: EMIRIMU GYA KATONDA MUNDA NE KUNGULU:

Kiki kyenandikoze okusooka?

 

Muntandiikwa y’olugendo lwaffe, twetaaga okutegeera enjawulo eriwo wakati weddiini n’omukwano. Ob’olyawo wali olabyeeko ku ngeri ez’eddiini gyeziyinza okwesiganmya buli nsonga ku mateeka amakambwe era wamu n’amaanyi ag’okuziyiza. Mu njawukana eriwo, enkwatagana yaffe ne Yesu, yandibadde ebeera yanjawulo; nga y’abuntu, nyanjulukuffu, y’abbugumu, ate era nga enunula.Yesu ayagala tujje gyali nga tufanana nga abaana abato engeri gy’ebajamu eri omuzaddde alina okwagala. Okugeza, omukyala wange, Wendi, wamu nange bulijjo twasanyukiranga nnyo, buli omu kwabo abana baffe abato omukaaga, bwe’yaddukanga nga ayanjuluza emikono gye nga ayagala okumunywegera era nga ayagala bwaweebwa ekifuba aberere ddala omwo, era nga awumuliramu n’obwesige. Nkusabeyo ekintu kimu kyokka ekitali kyabulijjo? Ngasiffuddeyo ku myaka gyo, ffuuka omwana omuto okumala eddakiika emu yokka. Jjangu eri Yesu nga omwana omuto bw’eyandize eri omuzadde we alina okwagala. Tewali by’asaba. Tewali era byasuubira. Togenda kusenya mannyo wadde oba okusanirira enviiri. Kyangu nnyo okujja n’obeera awo mu kuberawo kwe, nga onyumirwa okwagala kwe kwalina gy’oli. Lwaki totwala yo akaseera ekyo no kikola? Kale katukkirize embeera eno ey’ekito effuuke omuzze ogw’obulamu bw’affe bwonna. Okuva mu kifo wofunidde obwesige, ogenda kutandika okunyumirwa amaanyi, agakyuusa ag’obulamu obuggya. Togwa mu mutego ogwokubeera nga toyina kadde kakukola mirimu gy’a Katonda. Kino kisinga ku ngeri gy’etwandikuyambye mu, ffenna ayagala tuwumulire mu kulabilira kwe n’obukakafu. Kino nno ky’ekimusobozesa okukola okuyita muffe. Omulimu gwe, kwekutukola obulungi, munda n’ekungulu, so, si kungulu w’omunda.

 

Olunyiriri olw’okukwata: Soma Matayo 11:28.

 

“Mujje gyendi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza”