OLUNAKU OLW’OKUNA: BAIBULI: EKIGAMBO EKY’EMIREMBE GYONNA

 

Omusingi ogusinga obulungi ogw’okukula mu mwoyo gwe guliwa?

 

Nange salabanga Baibuli nga ekimu ku bintu eby’omukwano nga bw’eyafuuka kati gyendi. Nga sinaba kuwaayo bulamu bwange eri Kristo, nagisanga nga ng’entabulatabula, emirundi egimu nga yabyama ebyebuziba, mu ngeri emu kubanga nayagala ngisome okuva wetandikira nga ebitabo byonna ebirala bwe biri. Mangu ddala wulira ng’anzitowereddwa era ne ngiteeka wansi, ku mabbali.

 

Bwenamala okwatula obulokozi, nenfuuka omukiriza Baibuli n’etandika okufuuka ennamu nate. Engeri gy’enayingiriramu, kyali kusoma ku Yesu Kristo mu ndagaano empya. Emirundi egisinga, ate nga gyewunyisa, buli kyenasomangako ku makya ng’ate nkiraba okuyita mu lunaku, olwo lw’ennyini. Okuyiga okuva mu Baibuli ky’ekisinga ku bintu byonna mu kubo ly’okuzimba ku lwazi olunyweevu olw’omwoyo ku musingi.

 

Okuva mu nyiriri ezilungamiziddwa mu Baibuli, ojja kuyiga Katonda nti kyeki! Engeri gyayagala obeeremu, era n’engeri gyana kulungamyamu. Lowooza ku ngeri gy’oyinza okubeera mu kigambo Katonda nga olinga omuntu ayiwa omusingi gw’ennyumba. Wadde nga kikwekeddwa okuva eri okulabibwa, kisukulumye era nga tewali kifo kyali kya kwekweeka mu nsonda.

 

Obunyweevu n’obukulu obw’ekitabo kyonna byesigamye ku musingi omugumu ggulugulu. Fuula Baibuli enteekateeeka kw’otambuliza obulamu bwo obw’omwoyo. Bwoba nga tolina Baibuli, osobola okukyalira omuntu ku mutimbagano gw’ensi yonna ogwa www.youversion.com, wojja okusanga ebikumi n’ebikumi eby’ebiwandikiidwa mu nnimi ez’enjawulo. Tandika ne njiri ya Lukka. Somako katono buli lunaku. Gganya ebigambo ebyo by’ogere gy’oli, bireete okulaba okupya, era n’amazima amapya.

 

Olunyiriri olw’okukwata: soma Abakolosaayi 3:16. “Ekigambo kya Kristo kibeerenga mu mmwe n’obugagga mu magezi gonna; nga muyigirizagananga era nga mulambulagananga mwekka na mwekka mu Zabbuli n’ennyimba n’ebiyiiye eby’omwoyo, nga muyimbira Katonda mu kisa mu mutima gwammwe.”