OLUNAKU OLW’OKUTAANO: KATONDA KWE KWAGALA:

Nyinza ntya okubeera omukakkafu eri okwagala kwa Katonda?

 

Bille Grahaamu, omubuulizi w’enjiri owamaanyi, yagamba nti gyokoma okusoma Baibuli, gyokoma okukizuula nti okwagala kwa Katonda, y’emu ku mbala ye essukulumye. Nange nali nfunyeeyo ebiseera, era nga nawe bw’oli, ne’mpulira nga ndi wala ddala n’okwagala kwa Katonda. Ob’olyawo, nawe wakulira mu makka agalimu entalo era nga goononese, nga mulimu, obanga temuliimu mukwano ddala okuva eri abazzadde bo. Oyinza okuba nga wali ofiiridwa abantu bo nga balwadde, bagudde ku bubenje oba okufiira mu ntalo. Oyinza okuba nga wali olozezaako ku njala oba obwaavu mu buliwo kumpi buli lunaku. Obulumi bw’eyongera bulijjo okuba nga butuli kumpi. Kati olwo okwagala kwa Katonda kubeera ludda wa?

 

Nzikiriza nti omutima gwa Katonda gumuluma nnyo, okusingira ddala ffe bwetuyinza okukimanya eri obulumi bw’affe bwetuyitamu, obutali bw’enkanya wamu nemiguggu emizito abaana be by’ebayitamu. Ekibi, bw’ekyaggya mu nsi, kyatuletera ebintu ebirala ebitukosa mu bulamu buno obw’abulijjo. Naye okwagala kwa Katonda eri buli sekinoomu kuffe, kwalabisibwa mu ngeri esukulumye era elabikako, bwe yatuma omwana we Yesu, okutugula atuzeeyo, oba atununule ffe, okuva mu muggundu omuzibu ogw’ekibi. Enjiri ya Yokaana etubuulira bulungi nti, “Katonda bwatyo bweyayagala ensi, n’okuwaayo nawaayo, omwana we eyazaalibwa omu yekka, nti buli amukiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutagwaawo” Yokaana 3:16.

 

Bw’ewafukumula obulamu bwo eri Katonda, wasisinkana maaso ku maaso n’ekitaawo ow’omuggulu wamu n’okwagala kwe. Kakati nga bw’eweyongerayo mu lugendo luno, yongera okwesigama n’okusembelerera ddala okuva gyali. Katonda akwagala.

 

Olunyiriri olw’okukwata: Soma Abafeeso 3:19. “N’okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa, mulyoke mutuukirire okutuusa okutuukirira kwonna okwa Katonda.”