OLUNAKU OLW’OMUKAAGA: OKUDDAMU ERI KATONDA.
Nyinza ntya okuddamu eri Katonda?
Katugeze nti otambula nga oyita mu kibira ekikutte be ppo, era noova mu kakubo kobadde oyitamu newesanga nga obuze. Obudde n’ebuziba era newesanga nga obunyogovu bwo mu kiro bugudde. Tolina mazzi wadde emmere. Mu ngeri eyewunyisa, newekoona wakati mu kikiza ekinene era nga tokyalowooza ku wa gy’olaga. Okutya n’ekutandika okukubutikira n’okukugwiira, n’ogamba nti nyinza obutasobola kuddayo gy’enavudde nga ndi bulungi! Kakati olwo amaaso go nga gayayaana, galaba ekitaangala mu maaso ewala ko.
N’okizuula oluvanyuma nti waliwo omuntu annoonya kirabika nga ekitangaala kisembera kijja gyoli. N’oyita n’olekaana nti “Nze nzuuno ndi wano!” n’owulira akwanukula nga agamba nti, sigala nga okyakowoola. Nga wayiseewo akaseera katono omununuzi wo alabika okuva mu mitti emyekusiffu, ye wa mu kibira era n’ekubo eridda ewaka alimanyi mu ngeri eterina kubuusabusa akuzaayo ekka. Omukuumi w’ekibira akukulembera n’akutuusiza ddala ku luggi lwo. Era n’ayogera nakugamba nti kati oli bulungi era tosubira mutawaana. N’olyoka otunula mu maaso ge n’olaba ekisa mu maaso ga taata. Ng’omaze okununulibwa, oddamu mu ngeri yonna gyosobola, ngolina okusiima okusukiriddde. N’ogamba nti, “nnyinza ntya okukwebaza.”
Webuuza, era nga naawe okimanyi nti tewali kusasula kuyinza kumatiza. Mu ngeri yeemu, kitaffe ow’omuggulu bw’eyatununula bwatyo. Embeera yaffe yali eyaayana nnyo okusinga bw’oyinza okutebereza. Tewaaliwo ngeri yonna yakukyekolera ffe ffennyini. Ye kyekyo lwaki yajja mu buntu natulungamya okudda ekka, ng’atununula okuva mu kufiira mu bibi. Engeri yokka eyamakulu ey’okuddamu eri okwagala kwe nga tumuddizaawo, ne mitima gyaffe gyonna, ne meeme zaffe, ne ndowooza zaffe, n’amaanyi gaffe gonna. Mu butuufu, obubaka obw’awakati mu Baibuli buli nti, twakolebwa ku lwa mulimu gumu gwokka omukulu: okufuna era n’okuzaayo okwagala kwa Katonda. Luno luguudo lwa makubo abbiri, lugenda ate nga ludda.
Olunyiriri olw’okwejukanya: Soma Ebbaluwa ya Yokaana esooka 4:19 “Ffe twagala, kubanga ye yasooka okutwagala ffe.”