OLUNAKU OLW’OMUSANVU: AMAKULU G’OBULAMU:
Kiki ekikulu mu bulamu?
Abantu banoonya amakulu g’obulamu mu ngeri nnyingi, obugagga, obuyinza, embeera eby’obugagga by’etubeera nabyo. Wadde nga byelarikiriza mukusikiriza, nga bwebirabika, abantu ababituukako emirundi egisinga tebamatira. Tetutera, okuleka nga tumaze okutuuka mu maaso eyo, olwo netutandika okwetegelereza ddala engeri omukwano gwafffe gw’etulina era omusukulumu gy’egulimu.
Nebaza Katonda olw’okuba nga nsobodde okubaako bingi byentuseeko mu bulamu. Bangi bandintunuridde nga omuntu awangudde, naye ng’ate by’enenyumirizaamu mu bulamu buno, ye mukyala wange, abaana baffe, abazukkulu, ne mikwano egyensonga ate ne Mukama waffe Yesu amaanyi agatunyweeza agatenkanika! Nebwetuba nga tulemeseddwa okubeera n’omukwano ogwobufumbo, ogwamakka oba emikwano waliwo oyo abeerera, atalemelerwa, era mukwano gwaffe. Wejjukize ky’eyeyama “Sigenda kubaleka era siribaabulira!”
Mu kiseera Bille Grahaamu we yabelera mu gy’ekyenda, yali amaze okufiirwa mukazi we Luusi, era nabo bonna abamuli okumpi, okuyita mu kufa. Naye yalina omukwano mu Yesu. Lumu yagamba nti, “Kuno kwe kuvumbula okukyasinze kwoyinza okusalawo mu bulamu bwo bwonna. Watondebwa kumanya Katonda, era obeere mukwano gwe lubeerera. Gano amazima gatagaza. Galowoozeko . asukulumye, atagerageranyizibwa ko kintu kyonna, kuba mukwano gwo. Ayagala gwe omumanye mu buntu.
Twalayo akaseera ofumitirize ku kintu kino mu buliwo, kubanga mukwo, okwata ku makulu ddala ag’obulamu.
Watondebwa kubeera mukwano gwa Katonda.
Olunyiriri olw’okujukiranga: Soma Yokaana 15:15. “Sikyabayita baddu; kubanga omuddu tamanyi Mukama we by’akola; naye mbayise ba mukwano; kubanga byonna bye nnawulira eri kitange mbibabulidde mmwe.”