OLUNAKU OLW’OMUNAANA: LWAKI ENAKKU ASATU?

 

Olwo enkyukakyuka ennungi egenda kutandika ddi?

 

Buli lwetukola enkyukakyuka yonna eyenjawulo ne bweba ya kika ki, enakku amakumi asatu ezisooka nkulu nnyo. Eby’okuyiga bikiraze nti kitwala ebbanga bwerityo okweyubulira ddala newejako omuze omukadde, oba okutandika okunyweeza gwofunye omuggya. Kale no, leka guno omuze omupya ogw’okuyiga ekigambo kya Katonda, ekikula kye wamu n’amakubo ge, binyweezebwe bulungi muggwe. Otandise ku lugendo olw’okuvumbula olw’obulamu bwo bonna, naye murimu okugeseza emikisa gyo wamu n’okugumira wakiri ebinajja gyoli.

 

Wano, waliwo engeri bbiri eziyinza okukujja ku mugendo, era n’engeri gy’ogenda okuzitunulira kineemu;

 

· Amakka wamu n’emikwano egitabitegeera, sifuddeyo oba obagambye kitono kitya, bo bajja kulaba enjawulo eri mu ggwe. Abamu bajja kwetaaga okunyonyolwa bamanye ekisingako naye ate abalala bajja kukusimbira ekkuuli, nokkuziyiza, ate abalala bakukudaalire. Engeri gy’onoyitamu si yakubeera nti welwanirira, oba buli kiseera okulaga obukakaffu, oba okuwakana nabo, naye okuleka Kristo, oyo kati atuula mu ggwe, abalage okwagala kwe nga ayita mu ggwe. Nnina esuubi nti, bwewaaanayitawo akaseera, nabo bajja kwagala okukyuka. Naye, buli kyonna kyakola, tokiriza balala kukuwalula nga bakuza mu mbeera zo ze walimu emabega.

 

· Emizze emibi egitayinza kusuulibwa mangu oba olyawo oli mu mukwano ogutali mulungi, oba nga olina obuzito obukutuddeko byoze oyitamu mu kulafubana kw’obulamu bwo. Oyinza okulowooza nti kino kijja kuba kizibu nnyo, oba oyinza okugamba nti sijja kusobola kuyita mu bulamu buno obuggya. Ebirowoozo bino bw’ebityo, tobiwa mwagaanya. Nga nsinzira mu bumanyirivu bwe’nina, tekigenda kutwala bbanga ddene, ojja kutandika okulaba obuwanguzi obw’enkunkunala. Jjukira, Yesu yakwetwalira gwe wenyinni nga bwe wali. Akwagala awatali kakwakulizo konna era nga ajja kkulungamya n’okukunyweeza mu buli ddaala lyotwala ery’olugendo lwo.

 

Olunyiriri olw’okujukira: Soma ebbaluwa ya Yokaana esooka 4:4 “Mwe muli ba Katonda, abaana abato, era mwabawangula; kubanga ali mu mmwe asinga obukulu ali mu nsi.”