OLUNAKU OLW’OMWENDA: OMUYAMBI

 

Ntekeddwa kutambula ntya ngandi mubulamu buno obw’ekiKristaayo?

 

Abamu balina okubuzibwabuzibwa nti amangu ddala nga tumaze okufuuka abakiriza, tuyinza okwongera okuberawo mu bulamu buno ku lwaffe. Emirundi egimu nange ntera okuggwa mu mitego bw’egityo nga ndowooza nti obusobozi bwange bumala. Lowooza ku talanta zo gwe ng’omuntu. Oyinza okuba nga bw’oyogera, oba bw’osunsula ensonga oba okufuumuka embiro, oli mukuggu. Naye, beera mwegendereza nnyo kubanga ate amaanyi ago gennyini gwe g’olina gayinza okufukira emiziziko okusobola okukola eby’obwa Katonda. Ekigendelerwa kya Katonda si kwe ku beera nti ffe twemalirira, naye nti tubeere bawombeefu, nga tuwulira n’okugondera Ye mu ngeri eyawamu nga twesigamye ku Ye mu nkolagana eno. Kakati ndowooza okiraba nti Katonda teyakuwa mulimu gw’otayinza kusobola kukola. Wewuunye, yakukola mu bulamu buno ng’omaze okuwanika, nabwanguya nga atusindikira ye okubeerawo kwe mu muntu oyo omwoyo mutukuvu. Ekigambo kino Omwoyo Omutukuvu , kiva mu Luyoonaani mu kigambo Nuwema, ekitegeeza okussa oba embuyaga. Bw’etufuna Omwoyo Omutukuvu kitaffe gwatusindikira ffe, twaniriza amazima, n’etuzuula nti ekibi wekiri era ne tulungamizibwa okukola ebituufu. Ojja kuzuula okunyonyolwa ku mwoyo omutukuvu mu Yokaana esuula ey’ekkumi ne’nnya (14) enyiriri 16, 17 ne 26. Awo ojakusisinkanawo omwoyo nga abudaabuda, omuyambi, omubeezi, omuyigiriza era ow’omukwano.

 

Tosuubira nti Omwoyo Omutukuvu agenda okujja gy’oli nga yefaananyiriza ng’omukubi w’ebyuma asanyusa oba nga yefuudde ekintu ekirala ekitalina mugaso, oba mu kitangala ekitayinza kugumikirizika. Ye akola kasirise, nga tamala gayingira mu mbeera yonna nga tayaniriziddwa. Bulijjo asonga ku Yesu, so si ku ye yennyinni. Bw’etubeera nga tusobola okufumitiriza ku kubeerawo kwe, atukuba akaama mu kutu kwaffe, era n’atusika munda mu mitima. Amaliridde okubeera naffe okutuusa ku nkomelero.

 

Olunyiriri olw’okukwata: Soma Yokaana 16:7. “Naye nze mbagamba amazima; kibasanira nze okugenda; kubanga nze bwesirigenda, omubeezi talibajjira, naye bwe ndigenda ndimutuma gy’emuli.”