OLUNAKU OLW’EKKUMI: ENDOWOOZA EZIDDWA OBUGGYA
Okuzza obuggya endowooza yange kitegeeza ki?
Bwekiba nga tekinaba kubeerawo kaakati, ojja kwesanga nga olafubana n’ebirowoozo ebikyamu era wamu n’endowooza. Nkimanyi wadde nga ntambudde ne Kristo okumala emyaka mingi, waliwo era ebiseera ebimu by’enesanga nga nguluba n’endowooza ezinsika okugeza okwelowoozako nzekka, amalala wamu n’okulemererwa okwesiga abalala.
Kyamukisa ogutayogerekeka nti Yesu Kristo agenda kutuyamba okukyuusa obulamu obw’ebirowoozo by’affe. Ekyo nno tekitegeeza nti buli kimu kigenda kubeera kyangu naye ate kisoboka. Omutume Pawulo annyonnyola enkola eno ey’okukyusibwa bwati. Soma Abaruumi 12:2. Mukama waffe tayagala ffe okuteeka endowooza zaffe kubbali bwe tujja gyali. Kino ate kyanjawulo. Yatonda endowooza yo era nga ayagala ebeere nga ekozesebwa mu bujjuvu, naye mu ngeri ennungi. Ayagala ezibwe buggya. Tolekerawo kulowooza, naye tandika okulowooza era nokutunuulira ebintu mungeri ye gy’abyagalamu era gy’abirabamu.
Engeri ey’omugundu ey’okutandikamu kino kwekulowooza, n’okufumitiriza, n’okugenda ebuziba mu by’awandiikibwa. Twala era okozese ennyiriri ezikoneddwako gy’etuvudde yonna mu kuyigga kuno, zifumitirizeeko, zejjukanye n’okuzejukanya. Okwejukanya eby’awandiikibwa ky’ekimu ku bikyasinze okuba eby’amaanyi mu ngeri gy’oyinza okwetendekamu era n’okuza obuggya endowooza yo. Lwaki totandikirawo kati?
Olunyiriri olw’okukwata olwaleero, wansi awo, olwo lwanjawulo nnyo, era nga lukyuusa mu ndowooza okuyita mu by’awandiikibwa. Luddengamu bulijjo, olufuule ow’omukwano gw’otambula naye buli wamu okuyita mu lunaku luno.
Olunyiriri olw’okukwata: Soma Abafiripi 4:8. “Ebisigaddeyo, ab’oluganda. Eby’amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby’obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna; oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga.”