OLUNAKU OLW’EKKUMI N’OLUMU: OKWAGALA ABALALA.
Naye ddala kisoboka okwagaala abantu abalala?
Ekiragiro eky’okubiri ekikulu kyekino nti “Yagala muriranwa wo nga bwe weyagala naawe.” Soma Matayo 22:39 (Ekiragiro ekisooka kwe “kwagala Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’endowooza yo yonna, n’emeeme yo, wamu n’amaanyi go gonna”). Nvumbula nti okwagala abalala kiyinza okuba ekizibu era nange nkimanyi, okusingira ddala, “Abalala abo, bwebaba nga bakuyisaako obubi okugeza, abo be nawola sente zange nga tebasasulanga bbanja lyabwe, wadde okugezaako okulaga nti bandyagadde okusasula. Gwe oyinza okuba nga ky’oyitamu mu buzibu kinene okusingawo, okugeza mu maka nga mulimu obutali bwesigwa, kumwe ababulimu oba omwagalwa wo oba omuzadde avuma. Okwagala abantu bw’ebatyo kiyinza obutalabika nga ekyangu. Waliwo ebintu ebikulu bibiri ebiyinza okutuwanguza, bw’etuba tunayagala abantu abalala. Ekisooka, okwagala abantu abalala kimu kubitwetagisa okukola, so si kya kulondako bulonzi. Tuyinza obutawulira nga abagala okulaga okwagala okwo eri abantu abatunyizziza ennyo. Naye ate Katonda atwetaga tusalewo okusonyiwa wamu n’okwagala abantu abo nga ekyo ky’ebatukoze tukigyeko amaaso.
Mu bumanyirivu bwenina, embeera eyo gy’owulira, egya kusigala nga ekugobelera. Naye entandikwa eri mu kintu kimu eky’okusalawo okusonyiwa wamu n’okwagala.
Eky’okubiri, mu mazima tusobola okwagala abalala nga twesigamiza okwagala okwo ku kwagala kwa Katonda kwayisa muffe. Fumitiriza ku kwagala kwe nga kulinga omugga ogw’amazima agutagwaayo nga gukulukutira muffe era okuyita muffe nga gufuluma eri abalala. Ye yensibuko yo mugga “kwagala”. Ye nsibuko, ffe tuli mikutu era abantu be be balina okufuna okwagala okwo nga balega ku kikka eky’omuwendo omungi ogwo kwagala kw’ebatalabangako. Okwagala kimu ku mikisa gyetuweebwa era ng’ate buvunanyizibwa obuva eri Katonda, butereevu okuva mu mutima gwe.
Olunyiriri olw’okukwata: Abasaselonika ekisooka 3:12. “Nammwe Mukama waffe abongerengako abasukkirizenga okwagalananga mwekka na mwekka neri bonna, era nga naffe eri mmwe.”