OLUNAKU OLW’EKKUMI N’EBBIRI: OKWEYAGALA FFE FENNYINI
Nsobola ntya okweyagala nze kennyini?
Wano nno wewali ekyewunyisa, okuva mu kuyiga okwegulo okwayise: Ensonga ejulizibwa yeeno, nti yagala, weteeketeeke gwe wennyini okwagala abalala. Otekeddwa okwagala muliranwawo nga bw’eweyagala gwe kennyini. Naye sikyangu bw’ekityo. Abantu abamu kino oluusi, bakibuzibwabuzibwamu nga omuntu bweyandirowoozezza ku ky’okunuuna olutabu lwa kyokoleti oba okuba n’esaawa ey’ebeeyi by’otoyinza kusobola kwetusaako, osobole okuwulira obulungi. Naye ebirabo ebiva mu kubeera nga tetutosobola kwesiima ffe ffennyini, n’ebyo ebitusikiriza, bimalawo akaseera katono ddala. Abamu basanga obuzibu okweyagala bo bennyini olw’okuba nti balina embeera ey’okwenyoma eyitiridde. “Sigenda kubeera nga ye,” sisobola kwenkanankana naye! Abantu abasinga begezza ku bantu balala, ekintu omutume Pawulo kyayita ekitali kyamagezi. (Soma Abakkolinso eky’okubiri 10:12). Ate era abalala bebuusabusa kubanga berowooza nti waliwo ensobi nnnyingi z’ebakola, oba ebibi ebikyabakuumidde mu buwambe. Tebanaba kuvumbula kunnunula kwa Katonda, okuli nti Yatusumulula okuva mu by’atuzitoweleranga eby’emabega, bwe tusaba era netuweebwa okusonyiyibwa kwe.
Ekisumuluzo ekikuyingiza mu kweyagala gwe kennyini, kwe kweraba nga Yesu ye yennyini bwakulaba. Oli wa muwendo ogutayogerekeka gyali, omulungi ennyo mu maaso ge, ekiranga okwagala kwe okwamaanyi, ajjuziddwa omwoyo gwe, ekitundu ky’omubiri gwe, eyatongezebwa okutuukiriza entekateeka ye eyenjawulo gyalina gy’oli. Twala yo akaseera ofumitirize obutonde bw’olimu nga bwe bwewunyisa ng’oli mu Kristo. Nga omuntu ayagalwa ennyo Katonda, eyayawullibwa okuva mu kifaananyi eky’obwavu, n’embeera yebitagasa by’ewayitamu okuva emabega, osobola okweyagala wekka era awo n’oyagala n’emuriraanwa wo nga bwe weyagala gwe kennyini.
Olunyiri olwokujukira: Soma Zabbuli 139:13, 14. “Kubanga gwe olina omwoyo gwange, wambikkako mu lubuto lwammange. Naakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwantiisa kwa kitalo. Emirimo gya kitalo. N’ekyo emmeme yange ekimanyidde ddala.”