OLUNAKU OLW’EKKUMI N’ENNYA: OKUZIYIZA OMUBI.
Nnyinza ntya okukola ku nsonga z’omubi?
Olunaku lumu waabalukawo okukaayana wakati wabakulu ab’okuntiko abaddukanya kampuni yaffe, kiki ekyavirako akasambatuko kano? Nali sirina ky’enkitegeddeko wadde! Akawungeezi ako, bwe nali nga soma akatabo akayitibwa “okukola ku nsonga z’omubi”, n’ekinzijira nti sitaani, omulabe wa Katonda omukulu, ayinza okuba nga yatabangula wamu n’okuletawo emitawana mu bakulu bano. Omuwandiisi w’akatabo kano akozesa engeri y’okunyonyola obuyinza bwetulina okuyita mu Kristo okusobola okutondawo enjawulo: okugeza omuntu ayambadde engoye ze ezabulijjo ali wakati w’enguudo we zawukanira, ate nga emotoka nyingi ziripaganye. Bambi natandika okuwuuba emikono gye obutakoowa nga agezaako okuziyimiriza ezo ezijja, wabula zisigala zimuyitako nga n’okwesoozazesooza kati nalowooza era nakola enkyukakyuka emu yokka. Neyenaanika ekyambalo kyabaserikale ab’ebidduka. Amangu ddala, abagoba batandika okukolerawo kyalagira. Wano no wenajja eky’okuddamu kyange. Singa nyambala Kristo, mba nsobola okusalirawo engendo z’emyoyo. Kale nenyambala ekyambalo, nensaba mu linnya lya Yesu, ne ntwala obuyinza eri amaanyi ago ag’omutawaana agatalabikirawo. Ekyanewunyisa nange, ekizibu kyali kisaanuse ng’olufu we lwabukira ku lunaku olw’okubiri. Omubi ddala mulabe atabusibwabusibwa. Eyaliko malaika asinga obukulu, bwe yajeema era bwatyo n’asuulibwa okuva mu Ggulu (Soma Isaaya 14:12). Wadde nga yawangulwa Yesu mu kufa kwe ku musalaba, setaani yeyongera bweyongezi mu ngeri y’okutiisatisa, okujungajunga era n’okulimba abantu ba Katonda. Yesu, ye yamuyita mubi eyajja okubba, okuta n’okuzikiriza. Olwo kati ffe tukole tutya? Baibuli etutegeeza nti “Tumuziyize era naye anatuddukanga” Yakobo 4:7. Mungeri endala, yambala ekyambalo eky’abapoolisi!
Olunyiriri olw’okukwata: Isaaya 49:25. “Naye bw’atyo bw’ayogera Mukama nti n’abo abamaanyi be baawamba baliggibwawo, n’omunyago gw’abentiisa guliteebwa; kubanga ndiyomba n’oyo ayomba naawe, era ndilokola abaana bo.”