OLUNAKU OLW’EKKUMI N’ETAANO: OKUNYWERERA-OMUTIMA GW’OBULAMU BW’EKIKRISTAYO:
Nyinza ntya okusigala nga ndikumpi ne Yesu?
Singa mbadde nsobola okusonga olunwe ku nsonga esooka gy’ewandyegombye gwe okufuna mu musomo guno, kyandibadde kino nti “Sigala nga ogatiddwa wamu ne Kristo. Ekigambo Baibuli kyekozesa mu nsonga eno kiri “kunywerera”. Nywerera mu ye. Wadde nga nange nkyalafubana mu kitundu kino, nga kiva ku muze omubi ogw’okugamba nti nkola kintu kyange, naye ate ekirubirirwa kyange eky’olubeerera, kwe kukula munze nga nyengera okumusembelera nga bw’ekisobokka. Okunywerera kisingako kukufufuna amagezi tusobola okumanya ku omusingi gw’okukkiriza naye ate netutamanya Yesu.okunywerera kisingako ku kola ebintu ebirungi. Okubeera n’enkolagana eya’namadddala wamu ne Yesu kyekisingiridde ky’etwandironzeeko ebikolwa ebirungi binagobelera oluvanyuma.
Yesu yakozesa enkola ey’amaanyi ennyo okunyonyola enkolagana gy’atwetaaza, bw’eyagamba nti “Nze muzabibbu, mwe muli matabi”, oyo anyweerera munze, nange mu ye, alibala ebibala bingi, kubanga temusobola kubala bibala nga temuli mu nze. Yokaana 15:5. Wano nno wewali ekirabikako: ffe nga amatabi tuteekeddwa okwesigamira ddala ku Yesu, omuzabibbu gwaffe kwe’tufuna obuwanirizi, okuvaamu obulungi wamu n’okubala ebibala. Okunywerera kibuna wonna mu biti byonna eby’obulamu, nga ozingiddemu n’ebirowoozo, by’obulamu bw’affe, eby’ensimbi wamu n’enkolagana ze tuba n’azo. Tunywerera nga obwesige bwaffe tubutadde mu Yesu mu bujjuvu nga twogera naye nga mukwano gwaffe, era nga tunyumirwa okuberawo kwe, nga tutuula mu kwagala kwe okutabusibwabusibwa, okulabilirwa wamu n’obukuumi.
Wekuume emitego egitera okujja emirundi egimu n’olowooza nti gwe olina okusooka okukikola, nga ate gwe tonaba kunywerera. Okunywera kwa kakano, si kwa mu maaso. Ekyokubeera awamu ne Yesu, kifuule ensonga yo esookerwako. Nyweerera mu ye.
Olunyiriri olw’okukwata: soma Yakobo 4:8. “Musemberere nga
Katonda naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebib; era mutukuzenga emitima ggyammwe, mmwe abalina emmeeme ebiri.”