OLUNAKU OLW’EKKUMI N’OMUKAAGA: OKUNYUMIRWA MUKAMA WAFFE.
Ddala waliwo ekirubirirwa ekyawakati mu bulamu buno?
“Mukama Katonda ow’obuyinza ali mu makati mu ggwe, omu yekka owamaanyi anaalokola: alikusanyukira n’essanyu, oliwummulira mu kwagala kwe, alikusanyukira nga ayimba.” Zeffaniya 3:17.
Oyinza okukuba ekifaananyi ekya kitaawo mu Ggulu nga assanyuka era ng’ayimba ate nga bw’akutunulako?”Omubulizi mu kifo ekimu mu Bungereza ekya “West minister” yebuuza: nti “naye enkomelero y’omuntu egenda kuba etya? Wulira eky’okuddamu ekisikiriza: enkomelero y’omuntu enkulu, kwe kugulumiza Katonda wamu n’okumunyumirwa emirembe gyonna.” Alexanda. W. Tozzaari, ye mukatabo ke “Okunoonya Katonda” agamba nti, “Katonda yatutonda, ye asobole okussanyusibwa…………………… nti ffe wamu naye, tusobole okubeera mu ku tabagana okw’obutukuvu, nga tunnyumirwa okuwoomerera, n’okutabagana okw’ebyamagero okw’abaana ba Katonda nga bali wamu mu buntu. Kyategeeza nti ffe tumulabe, Ye, tubeere wamu naye era obulamu bw’affe tubuzuule okuyita muye!”
Wano, katutunulire amakubo amangu agatutuusa kukunyumirwa Mukama waffe:
· Tandika okumulaba mu bintu byo ebyabuli lunaku nga omwo muzingiramu obulungi bw’ebyo bye yatonda ne njawulo y’okubeerawo kwa buli muntu.
· Ffaayo nnyo ku nsalo zataddewo, okugeza amateeka ge yalagira, ku lwo bulungi bwo, so si lwakukusalira musango oba okukukwatira mu nsobi.
· Welage gy’ali n’omutima gwo gwonna, okusinzakwo kwonna, okwebaza wamu n’okumutendereza. Gezaako bulijjo okwejjukanyanga n’enkola enno. Bw’onokikola ojja kutandika okunyumirwa Mukama nga bwe kitabeerangako mu bulamu bwo.
Olunyiriri olw’okujjukira: Soma Zabbuli 16:11. “Onondaganga ekkubo ery’obulamu: Gy’oli waliwo essanyu erituukirira; mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe n’emirembe.”