OLUNAKU OLW’EKKUMI N’OMUSANVU: EKISUMMULUZO ERI EDDEMBE.
Lwaki ddala amazima galina ky’egategeeza?
Lowoozamu nga obadde ofunye omukisa okuwayaamu n’omutume Pawulo nga muli ku lukopo lwa chayi. N’omubuuza nti “Naye Pawulo, kiki ekikukumamu omuliro ne kikuvuga okusobola okutuuka kumpi kubuli muntu yenna n’enjiri? Oba olyawo ayinza okugamba nti “Kubanga waliwo katonda omu, era omutabaganya wa Katonda n’abantu omu, omuntu Kristo Yesu. (1 Timoseewo 2:5).” Eky’okuddamu kye kyanjawulo, ate nga kyesigamiziddwa ku nnono zokukkiriza kwaffe. Tewali bakatonda bangi, naye omu, ate era waliwo ekubo limu lyokka eritutuusa gy’ali; Okuyita mu Yesu Kristo, oyo eyagamba nti, “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu, tewali ajja eri kitange, wabula nga ayita munze.” (Yokaana 14:6). Ekinnyusi ekiri mu mazima ye Mukama waffe yennyini.
Lwaki tutekeddwa okulwanirira amazima?
· Amazima gatusumulula ffe. Yesu yagamba nti, “Era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.” (Yokaana 8:32).
· Amazima gatulungamya ffe. “Naye bwalijja oyo, mwoyo w’amazima, anaabalungamyanga mu mazima gonna” (Yokaana I6:13).
· Amazima gatukuuma ffe. Bw’etufuna okwagala kwa Katonda wamu n’amazima, “Tukiriza okwagala amazima tulyoke tulokoke, era omuntu yenna tabakyamyanga.” (2 Abasessalonika 2:10 ne Matayo 24:4)
Oli muyizi mu masomo ag’awaggulu? Okimanyi nti okulimba wamu n’okukwabula kitundu ku bikakasa obukodyo bwetulinawo. Oli mu matendekero ag’ekikugu? Okimanyi bulungi nti amazima g’ennyinyi gavumirirwa mu matendekero gano gonna? Oli mu busubuuzi? Emirundi egisinga obungi, amazima gasulibwa wali wabbali negasikirwa okwekulakulanya n’okwagala okukola amagoba. Amazima gateekwa okufiibwako. Katonda atukoowola nga abakkiriza okumanya era n’okunywerera ddala ku mazima, ne bw’ekiba nga kyetagiisa ki?