OLUNAKU OLW’EKKUMI N’OMUNAANA: ABAKOZI WAMU NAYE.

 

Katonda omulowoozako nga omulamu, omukakalukanyi era nga yennyigiddemu?

 

Eky’enjawulo mu bakatonda bonna abalala mu buli ddiini eteri ya kikristaayo, abo bayise buyise, tebategerekeka era balinga abantu ab’edda ab’amaanyi abayogerwangako. Yesu yagamba nti, “Kitange akola okutuusa kaakano, nange nkola!” Yokaana 5:17. Katonda teyantonda nsi eno okuva mu kubwatuka kwa bbomu y’obutukuvu n’amaanyi, ate olwo nadda wali nagirekka yo y’effeeko, n’okwelabirira. Naye, yennyigiddemu mu ngeri ey’omukwano, mu ffe, okwetoloora ffe, mu buli ngeri yonna, wamu n’embeera yonna. Bwetuba tetusobola kwetegereza nti Katonda alina emirimu gy’akola muffe, emirundi mingi tweteeka mu katyabaga, akokukola mu maanyi gaffe, ebyo Ye byeyandibadde akola okuyita muffe. Enkola zino zombi zanjawulo.

 

Okwegatta ku Katonda mu mulimu gwe, ky’ekimu ku mukisa ogutuwereddwa ate nga tegusangika sangika. Yakulembera, era nga mukozi mune, nogobelera. Buli ndowooza yo yonna wamu n’obusimu, bitandika okufuuka ebyeteefuteefu eri omulimu gwe. Tewali wadde ekigenda okugwawo obugwi. Buli kintu kyonna kibeerawo nga kisibuka ku nteekateeka ennene. Okugeza;

 

· Bw’otunuulira okwenyika okuli mu maaso ga muliraanwawo eyakafiirwa omwagalwa we, nga olina okutuusa okusaasira kwo wamu n’okumubudabuda.

 

· Ennyonyi gy’obadde ogenda okulinya ekuleka, oluvannyuma n’okizuula nti Katonda yabadde n’entekateeka lwaki ggwe ennyonyi yakulesse.

 

Lowooza ku mbeera gy’olimu kati, nga omuyizi, oba bw’onotandika okukola emirimu gyo, oba bw’onotandika amakka. Ogenda kukyuusa mirimu oba otekateeka kw’ewumuza? Awo woli toliiwo mu butanwa oba mu ngeri y’akabenje. Jjulula mungeri gy’olabamu ebintu, okuva kunkola eyiyo, obizze kunkola y’obwakatonda nga obuuza nti, “Wa gy’okolera, era nyinza ntya okwegattako mu mulimu gwo?”