OLUNAKU OLW’EKKUMI N’OMWENDA:OKUKUNGANIRA AWAMU.
Katonda nze angasse naani?
Ng’ogasse ku kukuza omukwano gwo ne Mukama waffe, kino kifuule ekikulu ekisookerwako nti olina okukwatagana n’abakkiriza abalala.
Ebibinja eby’abakkiriza oba amakanisa gajja oba bijja mu ngeri nnyingi zebitegekeddwamu. Biva kw’ebyo ebibinja ebitonotono ebikungaana mu ngeri y’okwekusika mu bitundu engeri y’okukungaana gyetakirizibwa, okutuuka ku makanisa obwaguuga agatuuza enkumi n’enkumi z’abakuristayo. Ekanisa entuufu era nga nnamu, zamaanyi era nga zitemye empenda ennungi, zeezo eziri mu ntekateekateeka ya Katonda yennyini ey’ebiseera bino.
Noonya ekanisa eyolesa enkola wamu ne neyisa ezigobelerwa mu kukungaana kw’endagaano empya nga bwe kinnyonyolwa mu Bikolwa by’Abatume 2:42. Waliwo ensonga enkulu nnya ezabazaamu amaanyi nga ekanisa, n’ebakula mangu ate n’ebasaawo omugundu ogw’ewunyisa.
· Okuyigirizibwa ky’abakumira nga banyweredde mu njigiriza entuufu.
· Okukunganira awamu kwakuma omuliro mu mukwano, okusinza okuzinganamu amaanyi era wamu nobuvumu.
· Okumenya emigaati n’okuliira awamu, kya tegezaanga nti balina nabo okukikola bwebatyo n’ewakka.
· Okusaba okw’awamu kwa laganga okwesigama ku Katonda ku lwa magezi, okulungamizibwa wamu n’amaanyi.
Kati olwo mutendera ki gw’ozaako mu ku kungaana nga omukristaayo? Osobola okusaba Katonda okugatta n’abantu ye balonze sekinoomu oba mu bibinja ebinene. Obunene si kyekikulu, naye enjigiriza ennungi wamu n’okusomesebwa by’ebisinga. Beera mwanjulukufu eri embeera ezitali z’abulijjo ezijja gy’oli. Emyaka minji mu makka gaffe, twakyaliranga amaka amalala. Abaana baffe bayagalanga nnyo enkungaana zino, ez’atekebwatekebwanga nga z’efananyirizibwako n’enkola eyali mu kanisa eyasooka eyogeddwako waggulu. Olwaleero, wonna mu nsi, amakanisa mangi amapya gatandikawo olw’okwagala okuyingira mu byetaago eby’enjawulo eby’abakkiriza abakalokoka. Emu kw’ezo yandiba nga yentuufu gy’oli.