OLUNAKKU OLW’AMAKKUMI ABIRI: OKUSINZA.

 

Lwaki kyamakulu gy’endi okutendereza n’okusinza Yesu?

 

Abakkiriza bwe batendereza Yesu era n’ebamuyimbira, kiri bw’ekityo kubanga Katonda, oyo kabaka w’ensi zonna, ayagala okusinzibwa abantu ye be yatonda? Si wewaawo, wadde nga tusobola okubeera n’obukakafu nti Katonda asanyukira okusinza kwaffe. Mu butuufu, nange nkizuula nti okutendereza wamu n’okusinza binsobozesa okusitula ebirowoozo byange okuva gyendi n’embiza eri Kristo, omulokozi era Mukama w’obulamu bwange.

 

Bwetufumitiriza ku bulungi bwe, n’okwagala kwe okwewunyisa , wamu n’esaddaaka y’okufa kwe ku lwaffe era n’amaanyi n’obuyinza mu bulamu bwaffe, engeri y’obutonde eky’okuddamu eri ebyo byonna, kwe kutendereza wamu n’okusinza.

 

Nga tusiima nga bulijjo, ekyo nekizaala ensulo zaakwo mu nda muffe. Dawudi, kabaka wa Yisirayiri asinga obukulu yali musinza ddala. Zabbuli zijjudde engeri y’okuyiwamu wamu n’okufukumula omutima mu ngeri y’okwebaza era nokulaga okwagala eri Mukama waffe.

 

· “Ye mu muwenga okwebaza kubanga ye Mukama, kubanga mulungi! Okusasira kwe kunywerera emirembe gyonna.” Zabbuli 107:1

 

· “Mukulu Mukama era asanidde okusinzibwanga.” Zabbuli 48:1

 

· Ddala Mukama mulamu! Olwazzi lwange awebwenga omukisa! Kituufu Mukama Katonda ow’obulokozi bwange ayimusibwe.” Zabbuli 18:48.

 

Nga okola emirimu gyo egy’abulijjo, mutendereze olw’ekyo kyali, mutegeeze nti omwagala. Enakku ezimu oyinza okuwulira nga tolina ky’akwebaza, naye gy’okoma okumutendereza okuyita mu lunaku, gyojja okukoma okufuna essanyu lye, era olabe n’ebintu mu ndaba ye. Obulamu obwo obw’abulijjo bujja kutandika bwonna okufuna amakulu amaggya.

 

Olunyiriri olw’okukwata: Soma Zabbuli 103:1. “Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; ne byonna ebiri mu nda yange, mwebaze erinnya lye ettukuvu.”