OLUNAKU OLW’ABIRI MW’OLUMU: OKUSABA.
Nyinza ntya okuwuliziganya ne kitange ali mu ggulu?
Nga kyamukisa munene ddala okusobola okwogerezeganya mu buntu ne Mukama waffe afuga eggulu lyonna wamu n’ensi mu kiseera kyonna! Abayigirizwa ba Yesu bbo bakyetegerereza ddala wamu nokupima obudde ye bwe yamala n’ekitaawe ow’omuggulu. Olunaku lumu n’ebamubuuza nti oyinza okutuyigiriza okusaba? Okuddamu bulijjo kwatwalanga erinya “Esaala ya Kitaffe” mu Matayo 6:9-13 nga ekyokulabirako. Kitulungamya nga kituza gyali, kireeta gyali eby’etaago by’affe naddala obugabirizi, okusonyiyibwa, wamu n’obukuumi, ate n’ekimalirizibwa nga kigwera mu kumutendereza. Yogera ne Yesu Kristo nga bw’oyogera ne mukwano gwo asinga. Tandika okwebaza wamu n’okumutendereza ku lw’okwagala kwe okusukulumye gyoli. Olwo nno kati tandika okumutegeeza eby’etaago byo. Osobola okugabana wamu naye kubuli ky’oyagala. N’okukimanya era akimanyi n’olwekyo tewelalikirira nti mu by’onosaba on’omukwasa ensisi.
Zabbuli za Dawudi nnyingi zonna za kukaabira Mukama amuwe obuyambi mu biseera obyobuzibu. Mu zabbuli 17, 28, 61, 64, 70 wamu ne 86, Dawudi akowoola Mukama asobole okuwulira era amuwe obukuumi. Bw’okimanya nga Mukama wali omuyiyeeko, komawo gyali mangu ddala osabe okusonyiyibwa. Agenda kukusonyiwa akuzeemu amaanyi, akunyweeze era aleete okwekakasa eri ebizibu byo.
Jjukira, okusaba kintu ekikolebwa nga emboozi etasalako wamu n’oyo gw’ogenda oyiga okwagala wamu n’okwesiga. Okutunulako obutunuzi waggulu mu bwengula era n’omwenyamu ng’olinga amulaba, oba okusika mu mukono gwo nga akwatagana ne Mukama mungalo; kino kisobola okukusembeza okumpi naye mu bwa sseruganda.
Olunyiriri olw’okukwata: Soma Abafirippi 4:6. “Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna, mu kusabanga n’okwegayiliiranga awamu n’okwebazanga bye mwagalanga bitegezebwenga eri Katonda.”