OLUNAKU OLW’ABIRI MW’EBBIRI: OKUKEMEBWA.

 

Lwaki nsigala nga nina ebirowoozo bino?

 

Amaanyi agakema era agazikiriza weegali era nga gakolera mu buli bulamu bwa buli mukiriza. Okukemebwa y’engeri etasalako era amaanyi agatuta, wamu n’emizze gyaffe emibi. Ekigendelerwa kwe kutulemesa okutambulira kumpi ddala ne Mukama waffe. Okukemebwa kwo ku bwakwo si kwa mutawana nnyo, naye okutwalirizibwa gyekuli, kisobola okuvaamu ebintu ebinene ate nga byakusigalira ddala mu bulamu bwaffe. Engeri ennungi ey’okweziyizaamu mu nsonga eno, kwe kulengera ewala, era n’etuyimiirira mu buvumu obw’okutereeza nga tubaako kye tukola.

 

Abakristaayo tebataliziddwa nti bo tebayinza kufuna birowoozo bibi okwo gatako ne nneyisa. Mu butuufu, olwokuba nti abakiriza ba muwendo bw’egutyo mu maaso ga Katonda, tusobola okufuuka abatunuuliddwa ennyo okukwasibwa omutego okusinga abatanakiriza. Omulabe waffe mugezigezi nnyo era nga yeyambisa buli nkola yonna gy’ayinza okukozesa, oba amakubo mwayinza okuyita okutukema.

 

Omutume Yokaana yakisimbako essira n’agamba nti tutekeddwa okw’erinda mu ngeri satu: “Okwaka kw’omubiri …………………., okwaaka kwa maaso………….. wamu n’amalala mu bulamau bw’affe.” (Soma 1Yokaana 2:16)

 

· Okwaaka n’okwegomba okuli mu mubiri, kuzingiramu okwenyigira mu buli kintu ekisanyusa, okutamirukukira mu buli ky’olowoozako naddala mu mubiri gwo oggusanyusa, okwo gatako ebirowoozo ebikyaafu eby’okwagala okwegatta mu bikolwa by’ekintu ekikulu.

 

· Okwaaka n’okwegomba kwa maaso kutegeeza ebintu ebyo by’etusiinga okumalirako obudde nga twetegereza. Beera mwegendereza naddala eri ebyo by’osaako amaaso.

 

· Okubeera n’amalala kiraga okwekuza n’okwerowoozako ffekka. Okweyagaliza ffekka ffeka, wamu n’okwagala ffe okweyongerayo mu maaso naye nga banaffe abalala betufudde amadaala.

 

Togezaako kulwanyisa kukemebwa ku lulwo gwe wennyini. Omulundi omulala lw’onoyingira mu bikemo, kowoola Mukama akuyambe, kubanga ye yekka ataasa abo bonna abakemebwa. Soma Abebulaniya 2:18. Mu buli buwanguzi bwonna obw’amaanyi bw’otukako, oyongera okufuna amaanyi ag’enjawulo. Katonda mwesigwa era ajja ku kutemerawo ekubo ery’obuddukiro. Ssoma 1 Abakolinso 10:13.

 

Olunyiriri olw’okujukira: Soma 2 Petero 2:9. “Mukama waffe amanyi okulokola abatya Katonda mu kukemebwa, n’okukuuma abatali batuukirivu nga babonerezebwa okutuusa ku lunaku olw’omusango.”