OLUNAKU OLW’ABIRI MW’ESATU: OKWESIGA MUKAMA KU LW’EBISEERA EBY’OMU MAASO.

 

Ebiseera byange eby’omumaaso birungi mu mikono gyange?

 

Wendi nange bwe twaali tutandika amakka gaffe, twatwala obudde bungi nga twogera ku bulamu bwa baana baffe bwebagenda okwanganga mu nsi muno. Bwe twalinga tukyewuunya, wewaawo twalina obuvvumu buno nti, “Eby’omumaaso byonna biri bulungi mu mikono gya Katonda. Tusobola okumwesiga, wadde mbeera ki yonna eriwo. Okulowooza ku byemabega eby’ayita, kye kimu ku ngeri gy’etutandikamu okwesiga Katonda. Baibuli ennyonyola eby’ayita nga biriko entandikwa ne nkomelero. Kino kitereevu, so si kyetoloovu nga amadiini agamu bw’egayigiriza, era zinnyonyolwa mu ngeri enkulu satu;

 

· Okutondebwa. Olunyiriri olutandika mu Baibuli luli nti, “Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi. Olubereberye 1:1. Yesu yaliwo. Kigambo yali awaali Katonda. Yokaana 1:2.

 

· Okunnunulibwa n’okuzzibwa obuggya. Okuzalibwa, okufa n’okuzuukira kwa Yesu kwatukiriza entekateeka ya Katonda olw’okuzaawo enkolagana yaffe naye. Wano enkyukakyuka yonna eyomugundu mu byayita weyajirawo.

 

· Okutukirizibwa.Baibuli ennyonyola okutukirizibwa okwenjawulo. Nga bwetusoma mu Abaefeso 1:10.

 

Kati tuli mu kiseera eky’omulembe ogututwaliriza eri okutukirizibwa. Buli muntu sekinoomu (nga nawe mwoli) era wamu nabuli kiberawo, birina ensonga lwaki bibawo, oba kuzaalibwa, oba kufa, oba okuvumbula okw’amagezi ag’ekikugu, oba muyaga ogw’amaanyi. Tewali budde bwa kubeera awo nga ebintu bituyitako buyisi, wabula okubeera obulindaala, nga twenyigiddemu era nga twesize Mukama mu bintu byonna nga bwawandiika esuula ey’ekitiibwa esembayo. Soma Matayo 24:42.

 

Olunyiriri olw’okukwata: Soma Okubikulirwa 21:6. Nangamba nti “Bituukiridde nze ndi Alufa ne Omega, okusooka n’enkomelero. Ndimuwa buwa, alina ennyota okunywa ku luzzi olw’amazzi ag’obulamu buwa.”