OLUNAKU OLW’ABIRI MW’ENNYA: ENDOWOOZA EY’EMIREMBE EGITAGWAAWO.
Nkumiira ntya amaaso gange kw’ebyo ebitagwaawo era nga bikulu?
Kizibu nnyo gy’etuli, oba nga tusoma okusobola okuyita ebibuuzo, oba okukyuusa nappi y’omuto, oba okutuuka ku kukaanya mu mirimu egivaamu ensimbi, oba okuwaayo ebirowoozo eri obulamu obutagwaawo ebiseera ebisinga obungi, ebirowoozo by’affe bibeera ku kintu kyonna ekiddako. Naye eby’awandiikibwa bitutegeeza nti “Katonda yatekateeka dda obulamu obutagwaawo mu mitima gy’abantu. Omubuulizi 3:11. Ekyo ekiri munda muffe, kikowoola okutegeeza ekyo eky’olubeerera ate ekisinga obukulu. Baibuli kwe kulungamya okwesigika eri okutegeera eby’obulamu obutagwaawo, ekakkasa omukiriza mu Yesu Kristo nti okusuubiza okw’obulamu obw’olubeerera, kutuufu nga obuliwo bw’obulamu buno. Omutume Pawulo yakitegeera nti twatekerwatekerwa bulamu obutagwaawo. Soma Abafiripi 3:20-21.
Endowooza eno eyina engeri gy’ekosa obulamu bw’affe wano mu nsi? Ddala kituufu bw’ekityo bwekiri! Obumalirivu mu bigendererwa ebisukulumu eby’obwakatonda bireeta esuubi. Nga bituwa obuvvumu okugumikiriza ddala, ne bwekiba nga okugezesebwa kuli kutya. Bwetugerageranya obulamu obutagwaawo, n’obulamu bw’affe buno obw’abulijjo, bwo bulinga bwakaseera era mukka! Tuyinza okugamba era nga omutume Pawulo nga awandiikira Timosewo ebbaluwa ey’okubiri 1:12.
Olunyiriri olw’okukwata: Abakkolinso eky’okubiri 4:17. “Kubanga okuboonabona kwaffe okutazitowa, okw’ekiseera kya kaakano, kwongera yongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky’emirembe n’emirembe.”