OLUNAKU OLW’ABIRI MW’ETAANO: OKUYITIBWA .
Nsobola ntya okuwereza Katonda mu mirimu gyange?
Okuyitibwa kwaffe okusooka bulijjo kuli eri Kristo. O.S. Ginnessi mu kitabo kye “Okuyitibwa” agamba bwati nti ekisookera ddala ffenna tuyitibwa eri oyo (Katonda) so si eri ekintu kyonna…….oba eri ekifo kyonna. Naye ate era ayongerako nti Katonda olumu atuyita okutuyigiriza by’etunakola n’emikono. Entekateeka ye gy’etuli ezingiramu emirimu gyaffe.
Nga omukkiriza ey’akalokoka, n’alowooza nti okuwereza Katonda mu bujjuvu, kyali kinetaagisa okuba nga nkikolera mu budde bwange bwonna, ng’emirimu gy’ekikristaayo. Naye ng’ate by’enali njagala wamu n’engeri gy’ennali njigiriziddwamu nga ensogera kudda mu by’akukanika wamu n’okukola emirimu egivaamu ensimbi. Bw’enasaba Katonda okulungamizibwa, nempulira nga ngamba nti “Yokaana nkuyise okole emirimu egirimu okukola ensimbi. Gukole n’omutima gwo gwonna.” Abakukristaayo balafubana okumanya okuyitibwa kwabwe ate nga baangi. Obuwangwa bwaffe mu ngeri eteli ntuufu eyawula wakati w’ebyo ebitukuvu n’ebyo ebyensi, nga kyogerwa nti emirimu emitukuvvu gya bukungu nnyo! Yesu wadde abagoberezi be tebaatwala ndowooza eno. A. W. Tozzari, mu kitabo kye “Okunoonya Katonda”, agamba nti, “Obutukkuvu oba eby’ensi nga bw’ebinonoozebwa tebilina musingi gwonna mu ndagaano empya.” Katonda abantu be abayita mu ngeri nnyingi ez’ekitiibwa eri eby’okukola, okuva ku buyigirize okugenda mu magezi ag’okukanika n’okufulumya eby’ekikugu, okuva mu bulimi okutuuka ku mirimu egy’okufulumya ebintu mu makolero, okuva mu kulera abaana okutuuka mu kuddukanya amakampuni. Okusoomozebwa wano kuli mu kintu kimu nti, tukuuma tutya emirimu gyaffe nga gikwatagana bulungi n’entekateeka za Katonda so nga tezikontana bukontannyi ne ntekateeka zze.
Okusobola okufuna obukakkkafu mu by’emirimu , lowooza ku bino: Talanta zange ziri zitya? Biki by’ennyumirwa? Obuyigirize bwange wamu n’obumanyirivu binjigirizaaki? Wa wempulirira essanyu lya Katonda? Emirimu gigenda wala n’okusuka ku kapapula akasasula omusaala. Zuula wa Katonda wakuyitidde, era okole butaweera okusinzira ku busobozi bwo.
Olunyiriri olw’okukwata: Soma Abakkolosaayi 3:23. “Buli kyemunakolanga mukolenga n’omwoyo, nga ku bwa Mukama waffe, so, si ku bwa bantu.”