OLUNAKU OLW’ABIRI MW’OMUKAAGA: MU, SO SI KULWA.

 

Nyinza ntya okukuuma obwenkannya mu bulamu bwange obwabulijjo?

 

Ekimu ku bintu ebikyasinze okusomooza obulamu bw’ekikristaayo, y’engeri y’okukwanaganya ebiri mu nsi etwetoloode, okusingira ddala mu mbeera w’olabira nga bakozi banno wamu n’emikwano gyo nga beeyisa mu mbeera etakwatagana n’empiisa ez’ekikristaayo. Buli lwetuba twogera n’abantu abalala, tusobola okusobya mu ngeri biri;

 

· Ensonga esooka ye y’okweyawula mu bwa sekinoomu, nga olwo tusazeewo kuberawo ku lw’affe ffeka. Naye olwo ate kiri kitya singa okweyawula kuno kutubbako engeri ey’obwakatonda abantu abalala gy’ebandireese gy’etuli netusikiriza mu bulamu bwaffe? Tusobola okufuuka “Baibuli” bo gy’ebasoma buli kaseera?

 

· Ensobi endala kwekusikirizibwa n’etufuuka ekyo abantu abatwetolodde ky’ebali. Baibuli etuyigiriza okuyimilira nga tweyawudde okuva eri ensonga ezitayinza kukubaganyizibwako birowoozo, so nga ate zisigala ngoonvu era nga zitukikako mu ngeri ezitukwataganyisa wamu n’abantu abalala.

 

Soma Malaki 3:18 ne Abakkolinso ekisooka 9:19-22.

 

Yesu yayolesa enkola eno ey’obwenkannya. Teyeyawula wadde okwefananyiriza. Ye yatabagananga n’abantu awo webaalinga, so nga ate era teyekirirannyanga. Bille Grahamu yagamba nti tuteekeddwa okubeera nga omwaala gwomu Gaafu bwe guseyeeya okuyita mu liyanja naye ng’ate gwo teguli kitundu ku guyanja guno. Abakkiriza bali mu nsi muno, naye ng’ate tebatekeddwa kumirwa nsi eno. N’olwekyo, tutekeddwa okusigaza okulangibwa kwaffe wamu nekilubilirwa naye nga ate birina okukosa ebintu ebitwetoloodde. Tutekeddwa okubeera mu nsi muno naye nga tetuliba mu nsi n’ebyaayo.

 

Olunyiriri olw’okujukira : Soma Yokaana 17:16 . “Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi. Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe mbatuma mu nsi.”