OLUNAKU OLW’ABIRI MW’OMUSAANVU: OLWO BWETWESITALA.

 

Nyinza ntya okuddamu okusituka oluvanyuma lw’okuggwa?

 

Ensonga enkulu era akaseera akazibu mu bulamu obw’omwoyo, ky’ekyo nga twesitadde. Kino kitera kuberawo mu kaseera ketutakirowoorezaamu wadde akatono. Otandise okutuuka ku mutendera ogw’okukula kwo, okugeza nga okuvvunuka emizze emibi, olwo ate newabaawo ekigwo. Nga tewali wadde okulabulwa, wesanga nga okoze ekintu “eky’obusiru ennyo”, okugeza nga okukwatibwa obusungu obw’etumbiizi, oba okukaayukira mukwano gwo nfa nfe.

 

kyetutera okukola amangu ddala nga twesitadde kibeera kizibu kyakunnyonyola. Bwetuba tetwegendereza, tusobola, okuva mu kwesalira omusango oba okuswaala, okuva ku Mukama. N’ogamba nti ddala “Kituufu nkyabiza, nfuuse alemereddwa.” Oba emirundi egimu oyinza okwagala okwetereza n’obutesalira musango. Okugeza nti naye abadde asaanira okuwewenyulwa nga nkozesa olulimi lwange! Gy’etukoma okweyongerayo mu mukwesese guno, gy’ekikoma okubeera ekizibu okudda engulu.

 

Ekubo eddala, ly’eryo ery’okusonyibwa, eryo ate lyo likola mu ngeri yanjawulo okuva kweyo gy’etulabye waggulu, nga kyo kikwongera okwenywereza n’okwongera okusemberera Katonda. Ekisumuluzo kiri mu kino nti komawo gyali (Katonda) mu bwangu, nga oli mulambulukuffu eri ekyo kyokoze, era osabe okusonyiyibwa. Togenda ku mwewunnyisa wadde okumusuula ku ky’ekango. Buli kintu kyonna ye akimanyidde ddala, nga ogaseeko n’ekyo ky’okyalowoozako obulowooza. Olwo okuddamu kwa Katonda kwo kuba kuyimiridde kutya? Bw’osoma ebbaluwa ya Yokaana esooka 1:9 okizuula nti kino ky’ekimu ku bisuubizo ebikyasinze okwewunyisa.

 

Kakaano twala obuvvumu. Jjangu buli mulundi gwewesanga nga wesitadde, ka kibe nga okw’esitala kwo kubadde kutono oba nga Kunene. Bw’onatandika okukikola, ojja kukizuula nti okwekakasa kw’olina mu kwagala kwe, wamu n’obumalirivu okuva gyoli kusigala kukula mu gwe buli lunaku.

 

Olunyiriri olw’okukwata: Soma 2 Peteero 1:3. “Kubanga obuyinza bw’obwakatonda bwe bwatuwa byonna, ebyobulamu n’eby’okutya Katonda olw’okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw’ekitiibwa n’obulungi bwe ye.”