OLUNAKU OLW’ABIRI MW’OMUNAANA: OKUSEMBELERA OMUSALABA.

 

Lwaki omusalaba kikulu gy’endi?

 

Eby’okuyiga byaffe nga bigenda bisembelera okuggwa era n’okumalirizibwa, njagala okukuzaamu amaanyi otandike okubeera okumpi n’omusalaba. Kino kiyinza okuwulikika nga ekitali ky’abulijjo, kubanga okufa okwalimu ekikangabwa ekitayogerekeka kwali wano ku musalaba, era nga kumpi buli muntu wano Yesu yamwabulirira. Naye, ng’ate gy’etukoma okusembelera omusalaba, awo gy’etukoma okusembelera ekifo ky’obuwanguzi. (Soma 1 Abakkolinso 15:54).

 

Ku musalaba;

 

· Yesu yabonerezebwa ffe tusobole okusonyiyibwa. (Yisaaya 53:4-5)

 

· Yesu yafumitibwa ffe tusobole okuwonyezebwa. (Yisaaya 53:4-5)

 

· Yesu yaguma nabonyabonyezebwa mu kufa olwo ffe tusobole okuweebwa obulamu obuggya. (Abaebbulaniya 2:9, Abaruumi 6:4)

 

· Yesu yatwaala obwaavu ffe tulyoke tufune buli kintu mu bujjuvu. (2 Abakkolinso 8:9)

 

· Yesu yatwala okugaanibwa kwaffe, ffe tusobole okufuna okukirizibwa kwa kitaffe. (Abaefeso 1:5-6)

 

· Yesu yafulibwa ekikolimo ffe tusobole okuyingira mu mukisa. (Abagalatiya 3:13-14)

 

Yimiliramu katono osooke ofumitirizeeko ku kubyomuggundu bino byonna ebyakyusa embeera ez’okukyukanya era n’engeri gy’ebikwatagana mu bulamu bwaffe. Okugeza, osobola okuwulira nga eyakolimirwa. Ddala kituufu yafuka ekikolimo ku lulwo osobole okuyingira mu mukisa gwo. Olwanagana n’okuganibwa ku Ku musalaba Yesu akuwa okukirizibwa wamu n’ebyo byonna by’ewali okoze ng’ebisobyo, oba ebyo byonna by’onokola ng’ebisobyo mu maaso.

 

Omutume Pawulo, yannyweza ensonga y’omusalaba bweyagamba nti ssiyinza kubeera na kya kwe nyumiriza okuleka omusalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo. (Soma Abagalatiya 6:14). Ku musalaba osumululwa okuva eri emiguggu eminene ate egitakoma. Tandika okubeera kumpi n’omusalaba. Lino ly’ekubo erikutuusa ku ddembe erijjuvvu.

 

Olunyiriri olw’okukwata: Abaruumi 11:33. “Obuzibu bw’obugagga obwamagezi n’obw’okumanya kwa Katonda tomanyi bwebuli! Emisango gye nga tekitegerekeka n’amakubo ge nga tegekkaanyizika!”