OLUNAKU OLW’ABIRI MW’OMWENDA: EBIDDAKO.
Kiki kati kyenzizaako okukola?
Gy’ebuvuddeko nawulira omukyala omukulu ng’amukristaayo nga ayogera mu ngeri ey’okusagirira nti “Sinaba n’awadde okusembelera wenjagala okuba mu bulamu obw’okusaba.” Bw’otunuulira kino tekifanana nga engeri y’obulimba ey’obukakamu. Kuno kwe kwali okukaaba okw’omutima okw’omuntu ayayanira okwongera okumanya ennyo Yesu Kristo. Omutume Pawulo yali mu mwakka gwe ogwali gumaliriza bwe yagamba nti, “Mukwagala okungi njagala kumanya Kristo.” Atujukiza omuddusi yenna alafubana okutuuka ku kaguwa awamalirizibwa nga bwe yeyongerayo.” Soma Abafiripi 3:10, 13-14.
T. Austiini-Spakisi, nga afumitiriza ku bunene bwa Kristo, yagamba nti “Ebiva mu mirimu gy’omwoyo omutukuvu mu bulamu bwaffe kwe kututwala ku mabbali era ku lubalama lwa semayanja ow’amaanyi atuuka ewala, ewala ddala okusinga gy’etuyinza okugelaragelarannya era wamu n’okufaayo ku ngeri kino gy’ekitukwatako. Lowooza ku buziba okuka wansi, n’obujjuvvu bwa Kristo! Bwetubeera nga bwetwali tubadde okuva omuntu lweyatandika okubeerawo, tugenda kusigala nga tukyali ku patta kwetwesundira okw’obugazi n’obujjuvu bwa Kristo nga bwali. (Byawandikiibwa T. Austiini-Spakisi, Essomero lya krito.)
Okuyiga kunno kugenda kuggwa enkya. Nkuyozayoza! Osobodde okugumikiriza omusomo gunno okumala ennaku 30 zonna! Nkukubiriza okwongera okulemerako era osigale nga okyakula, kubanga kuno kubadde kutakulako butakuzi ku ttaka. Wakyaliyo biingi nnyo mu maaso eyo! Era naawe olina obusobozi okufuna era ebingi ennyo naawe.
Okutegeera Kristo kintu kyabulamu bwonna n’olwekyo olina okusigala nga okyanoonya!
Olunyiriri olw’okukwata: Soma Baruumi 11:33. “Obuzibu bw’obugagga obwamagezi n’obw’okumanya kwa Katonda tomanyi bwebuli! Emisango gye nga tekitegerekeka n’amakubo ge nga tegekkaanyizika!