OLUNAKU OLW’AKKUMI ASATU: ABANYWEEZA BE KITANGAALA.
Nsobola ntya okuyamba abalala obulungi?
Nga ntekateeka okusiibula, “Mpulira essanyu okkugamba nti otandise okuzimba omusingi omunyweevu ku lw’obulamu bwo. Bwewajja eri Kristo, wanunulibwa okuva mu kizikiza n’oyingizibwa mu kitangaala kya Kristo. Omutume Peetero agamba “Soma 1 Peetero 2:9. Kakati nkuzaamu amaanyi okwaasa etabaaza yo gy’ewafuna eri abantu abalala. Ekisuubizo kikino Yesu kyeyawa omukyala ey’akwatibwa wakati mu kibi eky’ekizikiza eky’omubiri, “Namugamba nti nze musana gw’ensi, oyo yenna angobelera talitambulira mu kizikiza naye aliba n’ekitangaala eky’obulamu.” Soma Yokaana 8:12.
Wonna okuyita mu Baibuli, ekitangaala kye kinnyusi eky’awakati era nga yensibuko y’amaanyi ag’omugundu. Bulijjo ekizikiza okisanga nga kikontana n’ekitangaala. Mu butuufu, ekitangaala kizikiza ekizikiza. Oyinza okuba nga naawe wali olabye engeri akasubaawa gy’ekaletamu ekitaangala mu kisenge ekibadde kikutte ekizikiza. Kyekimu n’ebyokuyiga bino byonna, biyingiira ne bisaabulula ekizikiza eky’ekibi ekimaamidde ensi eno, nga bireeta ekitangaala ekisoomoza ekizikiza. Togezangako okunnyoma amakubo gonna goyinza okuyitamu okufuuka ekitangaala mu mbeera zonna woyinza okufunira omukisa nga oli nabomumaka go, mikwano gyo, bayizi bano oba bakozi bano. Era jjukira, sikitangaala kyo, naye kitangaala kya Kristo ekyaaka okuyita muggwe.
Kampunzike n’okukujjukiza ekyo Yesu kyeyagamba abagoberezi be bweyagamba nti “Muleke omusana gw’ammwe gwakke mu maaso ga bantu, balabe ebikolwa byammwe ebirungi, balyoke bagulumize kitammwe ali mu ggulu. Soma Matayo 5:16.
Njagala okukwebaza era n’okuwa Mukama Katonda ekitiibwa olw’okuba atusobozesa okukwatagana. Mukama akuwe omukisa era akunkumirenga bulijjo.
Bya Wandiikibwa: Yokaana Beketti